OKUTENDEREZA N'OKWEBAZA (#6268)

Ettendo lyonna, Ayi Katonda wange, libe eri Ggwe Oyo Ensibuko y’ekitiibwa kyonna n’obuyinza, ey’obukulu n’okugulumizibwa, eyobwakabaka n’obufuzi, eyobutukuvu n’ekisa, eyentiisa n’amaanyi.  Buli oyo yenna Ggwe gw’osiima Ggwe omusobozesa okusemberera Ssemayanja Asingira ddala Obunene, era buli oyo yenna Ggwe gw’oyagala Ggwe omuwa ekitiibwa ekyokumanya Erinnya Lyo Erisingira ddala okubeera ery’Eddanedda.  Ku abo bonna abali mu ggulu ne ku nsi, teri n’omu asobola kuziyiza okussibwa mu nkola  obufuzi bw’Okwagala Kwo.  Okuva eddanedda lyonna Ggwe wafuganga obutonde bwonna, era emirembe gyonna Ggwe oliyongeranga okukozesa obuyinza Bwo ku bitonde byonna.  Teri Katonda mulala okuggyako Ggwe, Ayinza-byonna, Asingira ddala Okugulumizibwa, Owaamaanyi-Gonna, Owaamagezi-Gonna.
Oyakaayakanye, Ayi Mukama, amaaso g’abaddu Bo, bwegatyo gasobole okukulaba Ggwe; era otukuze emitima gyabwe bwegityo gisobole okukyukira eri embuga y’emikisa Gyo emitukuvu, era gimanye Ye Oyo kwe Kwolesebwa Kwo Ggwe Mwene era Ensulo y’Ennono Yo.  Ddaladdala, Ggwe Mukama w’ensi zonna.  Teri Katonda okuggyako Ggwe, Atakugirwa, Awangula-byonna.

-Bahá'u'lláh
-----------------------

OKUTENDEREZA N'OKWEBAZA (#6269)

Ayi Katonda Alumirirwa!  Weebazibwe Ggwe kubanga Ggwe onzuukusizza era n’onfuula omulabufu.  Ompadde Ggwe eriiso eriraba, era n'ompa omukisa okutu kwange ne kuwulira; n’onkulembera okutuuka mu Bwakabaka Bwo era n’onnuŋŋamya mu kkubo Lyo.  Ondaze Ggwe ekkubo ettuufu era n'onsobozesa okuyingira mu Kyombo ky'Okununulwa.  Ayi Katonda!  Onkuume nneme okusagaasagana era onnyweze mbeere omuvumu.  Onkuume nneme okutuukibwako okugezesebwa  okwamaanyi, era onkuume era ombubudamye mu bbugwe omugumu ennyo ow'Endagaano Yo n'Eddaame Lyo.  Ggwe Owaamaanyi! Ggwe Liisoddene! Ggwe Awulira!  Ayi Ggwe Katonda Alumirirwa!
Ompe omutima nga endabirwamu, oguyinza okwakaayakanyizibwa n'ekitangaala ky’okwagala Kwo, era ompe ebirowoozo ebiyinza okukyusa ensi eno n’efuuka nga ennimiro y'ebimuli bya looza nga oyita mu nsulo z’ekisa ekitukuvu.
Ggwe Alumirirwa, Omusaasizi, Ggwe Katonda Muzirakisa asinga.

-`Abdu'l-Bahá
-----------------------

